24/07/2022
ya Leero evudde mu kitabo eky'oLubereberye 27:30 - 40
30 Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo tannaviira ddala eri Isaaka kitaawe, Esawu muganda we n’alyoka ayingira ng'avudde okuyigga.
31 Era naye n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti Kitange agolokoke, alye ku muyiggo ogw'omwana we, obulamu bwo bunsabire omukisa.
32 Isaaka kitaawe n'amugamba nti Ggwe ani? N'ayogera nti Nze mwana wo, omubereberye wo, Esawu.
33 Isaaka n'akankana nnyo nayini, n'ayogera nti Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n’agundeetera, nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne mmusabira omukisa? era naye n'okuweebwa aliweebwa omukisa.
34 Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba okukaaba okunene ennyo era okw'ennaku enayingi, n'agamba kitaawe nti Nsabira nze, era nange, ai kitange.
35 N'ayogera nti Muganda wo azze ng'alimba, era akuggyeko omukisa gwo.
36 N'ayogera nti Teyatuumibwa bulungi erinnya lye Yakobo? kubanga annyingiriridde mu byange emirundi gino gyombi: yanziyako eby'obukulu bwange; ne kaakano, laba anziyeeko omukisa gwange. N'ayogera nti Tonterekedde nange mukisa?
37 Isaaka n'addama n'agamba Esawu nti Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbawadde eri ye okumuweerezanga; era mmujjaajabye n'eŋŋaano n'omwenge: kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange?
38 Esawu n'agamba kitaawe nti Olina omukisa gumu gwokka, kitange? nsabira nze, era nange, ai kitange. Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.
39 Isaaka kitaawe n'addamu n'amugamba nti Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;
40 N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Olikunkumula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.