05/02/2022
Ekyawandikibwa kyogera ku misege ejekwese mu ndiga. Matayo-Matthew :7
15 Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye munda gy'emisege egisikula.
Emisege leero jekwese mu kanisa, tujilaba tujimanyi kubanga yagamba muli balabika ku bikolwa byabwe.,,,, naye ate ekinuma nti tukopye emisege kati nendiga zekwese mumisege👌
A basumba basilise nga endiga zigibwa kati benonyeza byabwe so si katonda
Bali mubuli kifo, kumikutu gya internet nga Facebook, whatsaap, abo bebasaja nabakazi bakatonda ababulira nga bogera nti katonda akebera mitima era yetaaga mutima gwo ebisigade Kola bibyo, tebafaayo ngeri ki gyolabikamu wabula bogera nti omutima gwo no mwooyo gwo Mukama byafaako wabula si mubiri gwo.yensonga lwaaki ekanisa tekyakozesa mibiri gyayo nga sadaaka mu maaso ga katonda.
Mubigambo bogera nga abamanyi katonda naye mu bikolwa bamwegaana dda.
Bano bebantu a bogera nti katonda abeera mu mutima munda era balabika nga a balokole a abaava munsi naye nga bakyakola Ebyensi. Bafananyeko n'abaana ba Israel nga Bava emisiri naye ate nga bagala okudayo olwebyo byebalyanga.Bano bogera nga abavude munsi nayenga bagala Ebyensi okusinga katonda!! 😭
obulokole oba olugendo lwo kukiriza lutaro nga tulina okulwana ensi nebinyumu byaayo kubanga ensi erabika nga ewooma naye telina lugendo, etutwaala mukuffa ye nsonga lwaaki tulina okwewaayo netwetika omusalaba mubulumi netugoberera yesu mukwewaayo mu kwagala nga tulindirira obulamu obutaggwaawo...........
Zino ndiga naye tezagala kulisibwa musumba kyeziva zisigala mukifananyi ekyemisege.
Banyinafe abatula nti balokoka naye nga bambala nga abenzi.! Abatunda emibiri gaabwe nga bolesa. Eyo ndiga mukifananyi kyomusege.
Mbu yesu mulokozi wo era walokoka naye oyambala buno buleging obulaga omubiri gwo wena nga bwewakula. Bwemuguyita nti mulembe naye ate muvude mukubo eryo bulamu.
Mulabika nga abakola ekituufu naye mugenda mukuffa.
Waliwo baganda bafe abalenzi, nebakuza enviiri nga zilinga zabakazi, nebazisiba zemuyita dreds, nebesiiga ebi langi ebitategerekeka, nemwambala empale ezijude ebituli nga mulinga abasaja nabakazi abagwi bedalu!! 😭
Nemwambala obussati mwena nga ebifuba namabeere nugatwalira wabweru, nemwejuza enjegere mubulago nga mulinga abasibbe, abaddu! Mwekweese mumisege.
Tulabye abakazi bakabasumba ne ba sisters baffe mu kanisa, bajja basize face zabwe, enjala empanvu, emimwa nga jilinga ejiva okuyonka omusaayi, bambade ebikowekowe tebalaba nabulunji, bambade obugato obuwanvu nga tebasobola nakuzinira yesu mu kanisa, anti bajide mumulembe ogubajja mu kwagala kwakatonda.
woba dala oli ndiga lwaaki okola ebyomusege?
Mulekere awo okubuzabuza ensi namwe kyenyini, banji muli mukanisa naye mweyita ndiga kyoka emisege jibagoba kubanga jilowooza muli bayo, jilowooza mwaava mujo.
Ensonga eri nti mwambade nga jjo, ahhhh, kibi nyo okwambala nga omusege, naye ate waliwo nendiga ezikopye emisege!!!!.............
Kiringa okubika obulungi nenfuufu ate nga obuluji bulina kutekebwa kungulu bulyoke bulabisibwe wona.
Abantu webakutunulira balaba ekitangala mugwe? Engeri gyolabikamu eweesa katonda ekitiibwa ne tendo?
Abaserikale balina uniform zaabwe, abajaasi nabo, abasawo nabo bambala nga basawo... Enyambalayo erage ki kyooli, Musa bweyalondebwa muwala wa farawo ku muga bakitegeera nti yali wa mu zadde lya Israel olwenyambala ye!
Endiga muve mukola ebye misege, Ensi nekanisa tebikyayawulwa, ekitiibwa kyakatonda tekikyalosebwa olwokuba tewali njawulo olwabo a bakkiriza nabatali, ensi tekyegoma kulokolebwa kubanga balaba ekanisa ate yekopa Ebyensi.
Lwaaki oyambala nga omwensi nga ate toli?
Kale no jukira jewagwa wenenye😭😭😭😭😭😭😭😭
1 Yokaana-1 John :1
5 Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye ekizikiza temuli n'akatono. 1 Yokaana-1 John :1
6 Bwe twogera nga tussa kimu naye ne tutambuliranga mu kizikiza, tulimba ne tutakola mazima; 1 Yokaana-1 John :1
7 naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana; tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna. 1 Yokaana-1 John :1
8 Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n'amazima tegali mu ffe. 1 Yokaana-1 John :1
9 Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.
Yesu ayita ekanisa okwenenya, okuva gyeyakyamira, yesu ayita ekanisa okwenenya enazibwe edizibwe bujja eve mumisege.
Mwenenye kubanga obwakabaka bwakatonda busembede😭
Ekifananyi : omuwereza wamukama Tomusange Tonny❤️
Jesus's bride ❤️
Nze ndi mugole wa yesu ❤️