15/01/2022
EKISINDE EKY’EKAWUNGEEZI
Mu linnya lya Patri, n’erya Mwana, n’erya Mwoyo Mutuukirivu: Amiina
KATONDA WANGE NZIKIRIZA NGA OLIWANO
Nkusinza, nkwagala n’okwagala kwonna okw’omwoyo gwange, Nkwebaza kuba wantonda n’onnunuza omwana wo gw’oyagala,N’onfuula Omukristu. Ate nkwebaza n’enneema zonna z’ompa. Naddala, kubanga okuumye obulamu bwange mu lunaku luno.
OSINZANGA KATONDA OMU YEKKA ERA OMWAGALIRANGA DDALA.
Tolayiriranga bwerere mu linnya lya Katonda, Olwongoosanga olunaku lwa Katonda, Otyanga kitaawo ne nnyoko, tottanga, toyendanga, tobbanga, olekanga okuwaayiriza n’okulimba, tewegombanga mukazi wa bandi, tewegombanga bintu bya bandi.
Katonda wange ompe ennema, Ey’okumanya, ey’okubonerera ebibi bye nkoze leero.
(Tujjukire ebibi byaffe ebya leero).
ESSAALA EY'OKUBONERERA
Katonda wange mboneredde nnyo, ebibi bye nnakola. Kubanga ggwe mulungi ennyo, omwagalirwa ddala. Ate kuba okyawa ekibi, nga mpeereddwa enneema yo, nkomye kuno sigenda kukujeemera.
KATONDA GWE OMULUNGI ENNYO
Wa omukisa mu Eklezia wo, n’abantu ab’ensi eno, ne baganda bange, ne mikwano gyange, n’abatanjagala. Kuuma bulungi bakulu bange ab’eddiini, n’abensi. Kyuusa emyoyo gy’abantu abatakukkiriza, komyawo abavudde mu Eklezia wo, juna abaavu, n’abasibe, n’abalwadde, n’abazirika, sonyiwa emyoyo egiri mu puligatori, Ompe ekiro ekirungi, n’enneema ey’okufa nga nkwagala.
KITAFFE ALI MU GGULU (MATAYO 6:9-13)
Kitaffe ali Mu ggulu, erinnya lyo litiibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu Ggulu. Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku. Tusonyiwe ebibi byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukola obubi. Totutwala mu kukembewa, naye tulokole mu bubi: Amiina.
MIREMBE MARIA
Mirembe Maria, Ojjudde enneema (Luka 1:28), wawebwa omukisa mu bakazi bonna (Luka 1:42), Ne Yezu Omwana w’enda yo Wa Mukisa (Luka 1:42b). Maria Omutuukirivu Nnyina Katonda (Luka 1:48); Tusabire ffe abononyi, kaakano ne Mukaseera ak’okukufa kwaffe:(Luka 2:35 &John 2:5) Amiina.
NZIKIRIZA KATONDA
Nzikiriza Katonda: Patri Omuyinza wa buli kantu. Omutonzi w’eggulu n’ensi. Ne Yezu Omwana we omu yekka Mukama waffe. Eyagwa mu lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, n’azaalibwa Biikira Maria, n’abonabona ku mirembe gya Ponsio Pilato, n’akomerwa ku musaalaba, n’afa n’aziikibwa, n’akka emagombe. Ku lunaku olw’okusatu n’azuukira mu bafu, nalinnya mu Ggulu atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda Patri Omuyinza wa buli kantu, alidda okulamula abantu abalamu n’abafu.
Nzikiriza Mwoyo Mutuukirivu, Elkezia Katolika Omutukuvu, Okussa ekimu okw’abatuukirizi, ekisonyiwo eky’ebibi, okuzuukira okw’emibiri n’obulamu obutaggwawo; Amiina.
ESSAALA EYO KUKIRIZA
Katonda wange nzikirizza nnyo, ebyamazima byonna, Eklezia Katolika by’atuyigiriza. Kubanga ggwe nnyini wabimuyigiriza. Toyinza kwerimba, yadde okutulimba
ESSAALA EYO KUSUUBIRA
Katonda wange nsuubira mu kisa kyo.. ng’olimpa enneema yo munsi. Ate bwe nkwata ebiragiro byo, olimpa obulamu obutaggwawo mu ggulu, kuba ggwe nnyini wabitulazaanya. Otuukiriza endagaano zo.
ESSAALA EYO KWAGALA
Katonda wange nkwagala nnyo n’omwoyo gwange gwonna, Okusinga ebintu byonna. Kubanga ggwe mulungi ennyo, omwagalirwa ddala. Ate njagala abantu bonna nga bwe neyagala okubeera gwe.
Biikira Maria omutukirivu. Nawe Malayika wange omukuumi, n’abatuukirivu mwenna abali mu ggulu, munkuume mu kiro muno, ne mu kaseera ak’okufa kwange, Amiina.
EKITIIBWA KIBE EKYA PATRI
N'ekya Mwana, n'ekya Mwoyo Mutuukirivu. Nga bwekyaliwo olubereberye, ne kaakano ne bulijjo, emirembe n'emirembe, Amiina.
BIIKIRA MARIA OWEKISA.
Ojjukiranga nti obwedda n’obwedda, tebawuliranga nti wali oyabulidde omuntu addukira gy’oli ng’akuwanjagira okumuyamba era ng'akusaba okumuwolereza. Nange no, Ayi Biikira mugole ba Biikira, Nnyabo, nzirukidde gy’oli nga nkaaba olw’ebyonono byange. Ayi Nnyina wa Kigambo, wulira okwegayirira kwange, ku lw’ekisa kyo, Ompe ky’enkusaba; Amiina.
ESSAALA EYO KUSABA OBUTUKUVU... Yozefu omutuukirivu, omukuumi w’ababeererevu era kitaabwe. Olw’okubeera obwesige bwo obutaddirira, Katonda yakukwasa obutukuvu bwennyini. Ye Yezu Kristu. N’akukwasa ne Maria, Nnyina wababiikira. Olw’okubeera abeesigwa abo bombi, “Yezu ne Maria” abakulembera ebyagalwa byonna, tukwegayiridde nga tukwesengereza, tuwonye buli kigwagwa kyonna, ate otuwe okubeera n’emmeeme etaliiko kamogo, n’omwoyo omulongofu, n’omubiri omutukuvu, ndyoke mpeereze Yezu ne Maria nga ndi Mutukuvu ddala.
Mu linnya lya Patri, n’erya Mwana, n’erya Mwoyo Mutuukirivu: Amiina