16/11/2023
Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe.
2 Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo.
3 N'akutoowaza, n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.
4 Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n'ekigere kyo tekyazimbanga, emyaka gino amakumi ana.
5 Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng'omuntu nga bw'akangavvula omwana we, bw'atyo Mukama Katonda wo bw'akukangavvula ggwe.
6 Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga.
7 Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey'emigga gy'amazzi, ey'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi;
8 ensi ey'eŋŋaano ne sayiri; n'emizabbibu n'emitiini n’emikomamawanga;
9 ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi zaayo oyinza okusima ebikomo.
10 Era onoolyaaga n'okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw'ensi ennungi gye yakuwa.