Ekigambo maanyi luke 1:37

Ekigambo maanyi luke 1:37 spreading the word of God all over the world

29/08/2024

Mako 16:15-16
15 N'abagamba nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna.

16 Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.

29/08/2024

ALWAYS THINK BIG

08/09/2022

Engero 18
1 Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, Era alalukira amagezi gonna amatuufu.

2 Omusirusiru tasanyukira kutegeera, Naye omutima gwe gwebikkule bwebikkuzi.

3 Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa.

4 Ebigambo eby'omukamwa k'omuntu mazzi ga buziba: Oluzzi olw'amagezi mugga ogukulukuta.

5 Okukkiriza amaaso g'omubi si kulungi, Newakubadde okugoba omutuukirivu bw'awoza.

6 Emimwa gy'omusirusiru giyingira mu nnyombo, Akamwa ke ne kasaba emiggo.

7 Akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira kwe, N'emimwa gye kye kyambika eky'emmeeme ye.

8 Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto.

9 Era n'oyo atenguwa ng'akola emirimu Ye muganda w'oyo azikiriza.

10 Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe.

11 Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky'amaanyi, Era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.

12 Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw'omuntu gwegulumiza, Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.

13 Addamu nga tannawulira, Busirusiru n'ensonyi gy'ali.

14 Omwoyo gw'omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe; Naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?

15 Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya.

16 Ekirabo eky'omuntu kimuseguliza, Era kimutuusa mu maaso g'abakulu.

17 Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuukirivu; Naye munne n'ajja n'amukebera.

18 Akalulu kalekesaayo ennyombo, Era kalamula ab'amaanyi.

19 Ow'oluganda anyiize kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky'amaanyi: Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo.

20 Olubuto lw'omuntu lulikkuta ebibala eby'akamwa ke; Ekyengera eky'omu mimwa gye kirimumala.

21 Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

22 Alaba omukazi okumufumbirwa alaba ekirungi, Era afuna okuganja eri Mukama.

23 Omwavu yeegayirira: Naye omugagga addamu n'ebboggo.

24 Akwana emikwano emingi yeereetako okuziki

08/08/2022

Okuva 20
1 Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti

2 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.

3 Tobanga na bakatonda balala we ndi.

4 Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka:

5 tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa;

6 era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange.

7 Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.

8 Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga.

9 Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna:

10 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo:

11 kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.

12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.

13 Tottanga.

14 Toyendanga.

15 Tobbanga.

16 Towaayirizanga muntu munno.

17 Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.

18 Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala.

19 Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa.

20 Musa n'agamba abantu nti Temutya: kubanga Katonda azze okubakema, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona.

21 Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali.

22 Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe.

23 Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b'effeeza, newakubadde bakatonda b'ezzaabu, temubeekoleranga.

24 Ekyoto eky'ettaka onkolere, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo: buli wantu we njijukirizanga erinnya lyange ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa.

25 Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa.

26 So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako.

03/08/2022

Romans 8:4-7
4 obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo.

5 Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri: naye abagoberera omwoyo, bya mwoyo.

6 Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe:

7 kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegakuyinza:

Okubikkulirwa 31 Era eri malayika ow'ekkanisa y’omu Saadi wandiika nti Bw’ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya ...
25/07/2022

Okubikkulirwa 3
1 Era eri malayika ow'ekkanisa y’omu Saadi wandiika nti Bw’ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n’emunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu.

2 Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebyali bigenda okufa: kubanga ssaalaba ku bikolwa byo ekyatuukirira mu maaso ga Katonda wange.

3 Kale jjukira bwe waaweebwa ne bwe wawulira; okwate, weenenye. Kale bw'otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli.

4 Naye olina amannya matono mu Saadi agataayonoona ngoye zaabwe: era balitambula nange mu ngoye njeru; kubanga basaanidde.

5 Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne mu maaso ga bamalayika be.

6 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.

7 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti bw’ati bw'ayogera oyo omutukuvu ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, nti

8 Mmanyi ebikolwa byo (laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw'atayinza kuggalawo) ng'olina amaanyi matono n’okwata ekigambo kyange, so tewegaana linnya lyange.

9 Laba, ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okusinza mu maaso g'ebigere byo era ndibamanyisa nga nnakwagala.

10 Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abatuula ku nsi.

11 Njija mangu: nyweza ky'olina, omuntu aleme okutwala engule yo.

12 Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.

13 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.

14 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, nti

15 Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.

16 Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma, ndikusesema mu kamwa kange.

17 Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere:

18 nkuweerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.

19 Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye.

20 Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.

21 Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka
22 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.

10/07/2022

Engero 15
1 Okuddamu n'eggonjebwa kukyusa ekuruyi: Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu.

2 Olulimi lw'ab'amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana: Naye akamwa k'abasirusiru kayiwa obusirusiru.

3 Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi.

4 Olulimi oluwonya muti gwa bulamu: Naye bwe luba n'obukyamu, omwoyo gumenyeka.

5 Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye oyo assaayo omwoyo eri okunenya afuna obutegeevu.

6 Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku.

7 Emimwa gy'ab'amagezi gibunya okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola.

8 Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira.

9 Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.

10 Waliwo okubuulirirwa okuzibu eri oyo aleka ekkubo lyennyini: Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa.

11 Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale emitima gy'abaana b'abantu tegisinga nnyo?

12 Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Tayagala kugenda eri ab'amagezi:

13 Omutima ogujaguza gusanyusa amaaso: Naye obuyinike obw'omutima bwe bumenya omwoyo.

14 Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye akamwa k'abasirusiru emmere yaako busirusiru.

15 Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo.

16 Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga bungi obuliko obuyinike.

17 Amaluma awali okwagalaaa Gasinga ente eya ssava awali okukyawagana.

18 Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka.

19 Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo.

20 Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.

21 Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera aluŋŋamya amagenda ge.

22 Awatali magezi okuteesa kufa: Naye kunywerera

04/07/2022

Abaefeeso 4
1 Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa,

2 n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana,

3 nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.

4 Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe;

5 Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu,

6 Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna.

7 Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri.

8 Kyava ayogera nti Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.

9 (Naye ekigambo ekyo nti Yalinnya, kigamba ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi?

10 Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke atuukirize byonna.)

11 Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza;

12 olw'okutuukiriza abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo:

13 okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo:

14 tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba;

15 naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo;

16 mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.

17 Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu,

18 nga bazikizibwa am

02/07/2022

Okuva 20
1 Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti

2 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.

3 Tobanga na bakatonda balala we ndi.

4 Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka:

5 tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa;

6 era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange.

7 Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.

8 Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga.

9 Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna:

10 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo:

11 kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.

12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.

13 Tottanga.

14 Toyendanga.

15 Tobbanga.

16 Towaayirizanga muntu munno.

17 Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.

18 Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayi

02/07/2022

Address

Kampala
256

Telephone

+256703334441

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Ekigambo maanyi luke 1:37 posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Place Of Worship

Send a message to Ekigambo maanyi luke 1:37:

Share