22/09/2021
EL-OLAM BIBLE FELLOSHIP. IN LUGANDA. OMUTWE: LASA OMULABEWO PAKA KU NKOMERERO. IS LUGANDA TITLE 📖Ebyawandiikibwa. 2bassekabaka 13:14_19
Enyiriri 14_15
Bulijjo kiba kirungi nyo okunoonya obuyambi oba okubeerwa okutuufu okuva ku nsulo entuufu era nokuddamu okutuufu nga kabaka Yowasi bweyakola.
Tulina kuddamu nga tunoonya Katonda kulwokutuyamba, nga tugondera ekigambo kye.
Ebimu ku by'amaanyi byetweyambisa mu lutalo bye bino.;
_👀Okusoma n'okwebuulirira ku Kigambo Kya Katonda. Zabuli 1:2_3
_🔥 Okusinza n'okutendereza Katonda. 2 Ebyomumirembe 20:
Bikolwa 16:
_ 🙏Okusaba. Yakobo 5:17_18
🗣️Bwetwatula eby'okulwanyisa ebyo tuba tulasizza obusaale eri omulabe. 1 Petero 5:8
📍Akasaale akobuwanguzi naakasaale akakuwangula, bulabikira mu ngeri entuufu oba enkyamu gyetwogeramu.
Ngero. 18:21,. Yobu 22:28
📖Olunyiriri 16
Omulanzi asomesa kabaka okulasa obusaale ewatuufu so si kumala galasa. _ Kiraga nti bulijjo Katonda anaatusomesanga, anaatulagirira, anaatuwanirira n'okutuyambanga.
Yisaya 48:17
Ngero 3:5_6
Enyiriri 17__19
Kabaka Yowasi yawangula okumala akaseera ate naawangulwa ebya ddala. Kino Kiraga entalo za mirundi ebiri, olw'omwoyo n'olw'omubiri. 2 Bakolinso 10:3_5,. Befeso 6:12
👊Entalo ziwangulwa mu nsi ya mwoyo okusooka nga tetunalaba buwanguzi mu buliwo.
Kabaka Yowasi teyagondera ddala, yagondako kitundu ekyamuviirako okuwangula.
Yakobo 4:7,. 2 Bakolinso 10:5
Tetulina kuggwaamu suubi, mu lutalo nga tulwana n'omulabe. Ngero 24:10
Yisaya 62:1,. 6_7
Tulina kulwana kutuuka ku nkomerero.
Matayo 24:10.
Yeremiya 29:11
Tekimala okukola obukozi ekituufu, wabula okukikolanga ekituufu entakera kyekireeta obuwanguzi obwannamaddala.
OMUSUMBA : Tendo Geofrey .