11/08/2026
Ministry yebyobulamu ekubiriza bamaama okukola ekisoboka okuyonsa Abaana emyezi 6 ejisooka nga tebatobessemu kiika Kya meere kyonna kubanga ekilungo ekili mu mabeere kyankiizo ddala mubulamu bwomwana nga bakula.
Dr.Daniel Kyabayinze director public health mu ministry yebyobulamu asinzidde munsisinkano nebanamawulire kukitebe Kya ministry yebyobulamu kukyokuyonsa abaana nga olunaku lwenkya Uganda yakutongoza sabiiti yokuyonsa kuddwaliro e Mulago.
Dr.Kyabayinze asabye abakozesa kumiriimu okussawo Ebifo Abakyala webayonseza Abaana kubanga kukyali kusomozebwa Kunene ddala okulemeseza abaana okuyonka.