15/05/2023
Abakristaayo bakubiriziddwa okukolera awamu omulimu gw’okuzimba Ekkanisa ya Mukama.
Mu kawefube ow’okunoonya ensimbi ezisoba mu bukadde 160, okusobola okusaamu Terrazo n’ebirawuli mu maddirisa mu kkanisa eya St. Apollo Kivebulaya Seguku C.O.U; Omusumba w'obusumba buno Rev. Elijah Kyobe akubiriza Abakristaayo abetabye mu service eya Donors Sunday nti beyongere okukola n’amaanyi nga bakolera wamu olwo lwe banayinza okkugusa omulimu ogw’okuzimbira Mukama Ekkanisa matendo. Yayongeddeko nti tewali kyetukola (kirungi oba kibi) ekitariko kusasulwa (2 Eby’omumirembe 15:7, Zabbuli 62:12).
Mwabaddemu n’okusiima okw’abakebezi abaali baweereza mu kisanja ekiwedde era Omusumba yabakwasiza ‘certificate’ ez’obubaka obusiima emirimu gyabwe. Oluvanyuma Omusumba yayingiza abakebezi abanaweereza mu kisanja ekya 2023 – 2024 era n’abakwasa ebbaluwa zabwe.
Omubulizi Sevume David atendereza Katonda, era yebazizza Omukubiriza Sam Mubiru awamu n'olukiiko oluzimbi, n’abakristaayo olw’omulimu ogukoleddwa mu kutonera Katonda nga tuzimba Ekkanisa Ye.
Ye Omukubiriza w'eKanisa eno Mw. Sam Mubiru yebazizza ladiyo eya Namirembe FM ne CBS FM olw’okutulangira ebirango ebya Donors Sunday, ekibiina ky’abegayirizi, ebitongole ku busumba n’obusabadinkoni, n’Abakristaayo bonna olw'okufuba okuwagira omulimu gw'okuzimba ekanisa eno okujituusa wetuuse.
Obukadde obukunukiriza mu assatu (30) bwe bwasondeddwa.
Erinya Lya Mukama Ly'ebazibwe.
113 new items added to shared album