02/12/2023
📖Okuva-Exod-Exodus :14:21-29
21 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.
22 Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu: amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
23 Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira ennyuma waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abantu be abeebagala.
24 Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri.
25 N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa: Abamisiri ne boogera nti Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.
26 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.
27 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.
28 Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja ennyuma waabwe; tewaasigala n'omu mu bo.
29 Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono.
📖Abaefeeso-Ephesians :6:10-18
10 Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge.
11 Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.
12 Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.
13 Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.
14 Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu,
15 era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe;
16 era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi.
17 Muweebwe ne sseppewo ey'obulokovu, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda:
18 nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n’okwegayiriranga kwonna mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna,
📖Isaaya-Isaiah :43:16
16 Bw'atyo bw'ayogera Mukama akuba oluguudo mu nnyanja n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi.