28/08/2022
OKUKYALA KWA SSABADIIKONI W'OBUSABADIIKONI BW'ENTEBBE MU BUSUMBA BW'ESSESE
Ssabadiikoni w'Obusabadiikoni bwe Entebbe akomekkereza OKUKYALA kwe okwa week ennamba mu Busumba bwe Ssese olwa leero nga 28/8/2022 nokusaba okubadde mu St Stephens Church of Uganda Kibanga SSESE.
Ssabadiikoni yatuuka mu Ssese ku lwokubiri nga 23/8/2022 era nga yawerekerwako Abaawule 13 ne bakyala baabwe okuva mu Busabaddikoni bwe Entebbe bwonna. Ssabadiikoni n'abaawule balambudde ebifo ebyenjawulo omuli Amasomero, Amakanisa, Abakristaayo, Abavubuka Ettaka mu banga erya Ssabiiti ennamba gyebamaze mu Busumba buno.
Mu bubaka bwe obwa Sunday eri Abakristaayo, *Rev Canon John Gitta Kavuma* asabye abantu ba Katonda bonna abazitoowereddwa n'ebizibu ebingi okwekwasa Yesu Kristo mu bulamu bwabwe awamu nokusaba obutaweera. Ebigambo bye abijje mu *Lukka 5:1-6* (4-5)- . ```Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti Sembera ebuziba, musuule emigonjo gyammwe, muvube.
5 Simooni n'addamu n'agamba nti Omwami, twategaaye okukeesa obudde ne tutakwasa kintu: naye olw'ekigambo kyo nnaasuula emigonjo.
```
Ategezezza nti wakati mu kusoberwa nokugwamu amannyi oluvanyuma lwobutakwasa kyenyanja kyonna ekiro ekiramba, Simooni Petero ne banne bakkiriza nebasuula omugonjo gwabwe nga Kristo bweyabalagira era ne batta ebyenyanja ebingi ebyabalema nokusitula.
Ssabadiikoni Amaliriza obubaka bwe nga akubiriza Abakristaayo obutakoowa kusaba kubanga mu kusaba mwemuli amannyi era abawadde ekyokulabirako Kya *Apollo Kivebulaya eyalumbibwa Empologoma mu bibira bye Congo nga abuulira enjiri naye naziwangula namannyi g'essaala*.
Okusaba kuno kwetabiddwamu ne RDC we Kalangala Mukyala Juliet Najjuma Ssenkoole asabye abantu obutesenza ku ttaka lya Kkanisa, awamu nokukubiriza Abakristaayo okuwagira nokujjumbira emisinde gya Rotary Cancer Run ejja nga 4/9/2022. RDC Ono aguze emijoozi 5 okuwagira ensonga Eno era agitonedde Abakristaayo.