25/05/2024
NOVENA Y'ABAJULIZI BA UGANDA
OKUWANJAGIRA ABAJULIZI ABATUULIRIVU AB’OMU UGANDA
Ayi Katonda, Omuyinza wa byonna, Kitaffe omulungi ow’ekisa ddala, tukwebaza kubanga wakkiriza okugulumiza Abaddugavu ab’omu Africa, abaali baabuliddwa; ng’ositula Abajulizi ab’omu Uganda mu lubu lw’abatuukirivu.
Era tukwebaza nnyo kubanga okkiriza ekitiibwa kyabwe okukyongerako, ng’obakozesa ebyewuunyo, olyoke oyolesezeemu obuyinza bwe balina ewuwo.
Mu mirembe gino, abantu bamaze okunyooma batyo Yezu Omwana wo, Abajulizi abo, abataafa ku kuganja eri Kabaka w;ensi balyoke baganje ewuwo, banaatuyigirizanga okwatula wonna Obwakabaka bwo.
Mu budde, buno, abantu bamaze okwetaba mu mayisa amabi batyo, Abajulizi bo banaatuyambanga, nga tulabira ku bo, okunyiikira obutukuvu; anti bo baasiima okuttibwa era baleme kufiirwa kkula eryo!
Mu kakyo kano ak’okwetaaya n’okwesanyusa obwesanyusa, baganda baffe abo banaatusindikanga okwefiisa, n’okugumiikiriza ennaku z’ensi; anti bo nga bali mu muliro babengeya, baabanga mu kuyimba buyimbi, nga batendereza Yezu ne Bikira Maria.
Ayi Mukama waffe, tukuwanjagira, nga tukwetowaliza, era nga tukwesiga nnyo, ku lw’Abaweereza bo abo, Abajulizi Abatuukirivu ab’omu Uganda tuwe……..(saawo eky’etaago kyo).
Ayi Abajulizi Abatuukirivu, mutuwolereze eri Yezu n’eri Bikira Maria tufune kye tusaba eri Katonda, atalina kamulema. Amiina.
AMATENDO G’ABAJULIZI
Ayi Mukama tusaasire……………………. …………………………….Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tusaasire……………………………………………………… Ayi Kristu tusaasire
Ayi Mukama tusaasire……………………………………………..……. Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tusaasire…………………………………………………………Ayi Kristu tuwe
Patri ow’omuggulu Katonda…………………………………..……..…………….Tusaasire
Mwana Omununuzi w’ensi Katonda……………………………..……….………… “ “
Mwoyo Mutuukirivu Katonda………………………………………………………..” “
Trinita Omutuukirivu Katonda Omu…………………………………………….……” “
Maria Omutuukirivu Kabaka w’Abajulizi……………………………………….……Tusabire
Karoli Lwanga Omutuukirivu omuwolereza w’Abavubuka n’enkola Enkatoliki mu Africa…………………………………………………………………………………….Tusabire
Matiya Mulumba Omutuukirivu gwe alabirwako Abafuzi ne bassemaka mu byonna…………………………………………………………………………………... Tusabire
Yozefu Mukasa Balikuddembe Omutuukirivu omusaale w’Abajulizi mu Uganda, eyalai luwaga w’Abasomi…………………………………………………………………………...…. Tusabire
Donozio Ssebuggwawo Omutuukirivu eyatakabaniranga otyo eddiini ya Yezu okugimanyisa banno, n’obuwombeefu mu mpisa zo,………………………………………………….. Tusabire
Andrea Kaggwa Omutuukirivu gwe alabirwako Abasomesa b’Eddiini ne ba teacher………………………………………………………………...……………….… Tusabire
Ponsiano Ngondwe Omutuukirivu omuserikale Omwesigwa, eyalumirwa atyo okuttibwa mu bujulizi……………………………………………………………………..……………. Tusabire
Atanansi Bazzekuketta Omutuukirivu eyali omuwanika omwesigwa mu nkuluze ya Kabaka………………………………………………………………………………….. Tusabire
Gonzaga Gonza Omutuukirivu eyakwatirwanga ekisaasaazi abali mu nnaku n’abasibe……………………………………………………………………………….. Tusabire
Noa Mawaggali Omutuukirivu omukozi atenyinyalanga mirimo eyaganza obwavu Evanjiri bw’etuyigiriza…………………………………………………………………….…… Tusabire
Luka Baanabakintu Omutuukirivu eyegomba ennyo okuttibwa mu bujulizi, ofaanane ne Yezu Omukomerere………………………………………………………………….……… Tusabire
Yakobo Buuzaabalyawo Omutuukirivu, eyali omuserikale omwesigwa, era omwagazi w’ensi yo, era omusomesa wa Kabaka…………………………………………………………… Tusabire
Gyaviira Omutuukirivu, ggwe ekyokulabirako mu kutabagana n’obutasiba bivumo ku mwoyo,…… ……………………………………………………………………………Tusabire
Ambrozio Kibuuka Omutuukirivu, omuvubuka omusanyufu, atalabwa mu kwagalana ne banno………………………………………………………………………………….. Tusabire
Anatoli Kiriggwajjo Omutuukirivu, omuddu omwetowaze, eyayagalanga eby’okusoma okukira ebitiibwa……………………………………………………………………………….. Tusabire
Akilewo Kiwanuka Omutuukirivu, eyakyayira ddala eby’obukafiiri, ne wemalira ku Yezu……………………………………………………………………………………. Tusabire
Kizito Omutuukirivu, omwana omutukuvu ddala, eyabugaananga essanyu olw’okwemanya obukristu,……………………………………………………………………………… Tusabire
Mbaaga Tuzinde Omutuukirivu, eyalondawo okufa okubeera Yezu, n’otowuliriza babo abaali bakusendasenda………………………………………………………………………… Tusabire
Mugagga Omutuukirivu, omuvubuka omuzira nnalukalala mu mpisa ennungi ey’obutukuvu………………………………………………………………………….... Tusabire
Mukasa Kiriwawanvu Omutuukirivu, omulonde omunyikivu, eyafuna batisimu ey’omusaayi gwo………………………………………………………………………….................... Tusabire
Adulfu Ludigo Omutuukirivu, eyasukkirira mu kugoberera Yezu okwefuula omuweereza wa banno,……………………………………………………………………………….…... Tusabire
Bruno Sserunkuuma Omutuukirivu, omuserikale eyatuwa ekyokulabirako mu kwenenya ne mu kwetangira ku by’okunywa,……………………………………………………...…….. Tusabire.
Yoanna MariaMuzeeyi Omutuukirivu, omubuulirizi omulungi, era atenkanika mu kukolera banno eby’ekisa………………………………………………………………………… Tusabire
Abajulizi Abatuukirivu ab’omu Uganda, mwenna mwanywerera ddala mu Klezia wa Yezu ow’amazima ne mumufiirira………………………………………………..…………Mutusabire
Kaliga ka Katonda ggwe ajjawo ebibi by’ensi……………….…………Tusonyiwe ayi Mukama
Kaliga ka Katonda ggwe ajjawo ebibi by’ensi……………………….…..Tuwe ayi Mukama
Kaliga ka Katonda ggwe ajjawo ebibi by’ensi……………………………Tusaasire
TWEGAYIRIRE
Ayi Mukama waffe, Yezu Kristu, ggwe eyawa Abajulizi Abatuukirivu ab’omu Uganda, Karoli Lwanga, Matia Mulumba ne Bannabwe, amaanyi ageewuunyisa; era naffe n’obatuwa batubeerere eky’okulabirako, kwe tunaalabiranga empisa ennungi ey’okukkiriza n’eyobuzira, ey’obutukuvu n’eyokwagalana, era n’eyobwesigwa: tukuwanjagira nga n’Abajulizi batuwolereza, otuwe okweyongeranga mu mpisa ennungi ezo n’okutabakanira Eddiini ey’amazima okugibunya wonna. Ggwe awangaala ng’owangamye ku Bwakabaka emirembe n’emirembe. Amiina.